Leviticus 4:8-10

8 aAmasavu gonna aganaabanga mu sseddume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, anaagaggyangako: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 9 bn’ensigo zombi n’amasavu agazirimu okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba ng’abiggyirako wamu n’ensigo, 10(nga bwe biggyibwa ku nte ey’ekiweebwayo olw’emirembe), bw’atyo kabona anaabyokeranga ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa.
Copyright information for LugEEEE